Matthew 3:10-12

10 aKaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.

11 b“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 12 cEkikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Copyright information for LugEEEE